Omuwendo gw'abasajja gukyali mutono: Abakugu boogedde ku buzibu obukirimu
Omukugu mu bungi bw’abantu alambuludde akabuzibu eggwanga bwerizze libaamu olw’abakyala okuba abangi ku basajja.
Kino era kyayongera okweyoleka mu kubala abantu okwakakkomekkerezebwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki UBOS, omuwendo gw’abakyala gukyasingira ddala ogw’abasajja obunene.
Tuwayizzaamu n’omukugu mu bungi bw’abantu okumanya kino engeri gyekiyinza okukosaamu eggwanga naddala eby’enfuna byalyo.