Okuzimba mu ntobazzi: NEMA emenye ekisenge kya kkampuni y’abachina e Maya
Ekitongole ki Nema kimenye ekisenge kya company ya TAISHAN INTERNATIONAL DEVELOPMENT LIMITED nga eno y’aba China kyebabadde bazimba mu lutobazi lwa Walumanyi ku kyalo Bujaasi mu Ggombolola ye Nsangi mu kyengera Towncouncil mu disitulikiti ye Wakiso .Nema egamba aba china bano bajingirira ebiwandiiko nebazimba nga Nema tekimanyiko. Bannanyini yo ababiri, nema yabakutte.