OKUYISA OLUGAAYU MU KKOOTI:Mao: essiga eddamuzi likulambulule
Minisita w'ebyamateeka Nobert Mao, ayagala essiga eddamuzi liveeyo lirambulule bulungi wa ensonga y'okuyisa olugaayu mu kkooti w'eva ne wekoma na bibonerezo ki ebigwaniidde.Ono asinzidde ku kibonerezo kkooti y'amagye kye yawadde munnamateeka Eron Kiiza eky'emyezi 9 ng'emulanga butagiwa kitiibwa.Mao naye alowooza nti ssentebe wa kkooti eno obusungu yayolesezza bungi nga agaba ekibonerezo kubanga omusango gwa Kiiza Ssi munene nnyo ekiri awo.