Minisita Mayanja aguddewo olukung’aana olw’abavubuka
Minisita omubeezi ow’eby’ettaka Sam Mayanja aguddewo olukung’aana olw’abavubuka abavudde mu disitulikiti ttaano ezikola ekitundutundu lya Wamala okuli Mityana, Mubende, Kassanda, Kiboga ne Kyankwanzi. Ono asabye abavubuka buli kiseera okumanya nti kuno kunsi baliko kiseera mu buli kyebakola bakulembeze nyo omutonzi. Olukungaana luno lwategekeddwa aba Pentecostal churches of Uganda n’ekigendererwa ky’okuteekateeka abavubuka okuba ab’omugaso mu nsi yabwe.