Akulira KCCA Hajjati Sharifah akwasiddwa wofiisi
Akulira ekitongole ki Kampala Capital City Authority omugya Hajjati Sharifah Buzeki n’omumyuka we Benon Moses Kigenyi abalondebwa omukulembeze w’eggwanga gyebuvuddeko olwaleero bakwasiddwa wofiisi zino mu butongole. Hajjati Sharifah Buzeki ategeezeza nga bwagenda okutandikira ku nsonga ya Kasasiro mu Kampula, okukyusa embeera y’eby’entambula mu kibuga, eby’okwerinda nga kwotadde n’okulwanyisa enguzi. Aboogezi ab’enjawulo ono bamuwadde amagezi okuyigira ku nsobi ezizze zisuula banne badidde mu bigere mu ntatta.