Bannamateeka bawakanya eky'okusiba Eron Kiiza
Bannamateeka ab’enjawulo n’abalwanyirizi b’eddembe ly’obuntu bategeezeza nga bwebagenda okukozesa buli muwaatwa okulaba nga bataasa munaabwe Eron Kiiza eyasindikiddwa mu kkomera olunaku lw’eggulo. Ono yasibiddwa emyezi 9 olw’okweyisa obubi mu kkooti y’amagye. Bano bagamba byonna ebyakoleddwa ku munaabwe olunaku lw’eggulo mu kkooti y’amagye e Makindye bityoboola ddembe lyabuntu nga n’ekibonerezo ekyamuweereddwa kikontana n’etteeka erigobererwa egye lya UPDF.