Kasasiro ava mu kibuga abamusomba bamuyiwa mu bantu e Kyengera
Abakulembeze ba district y'e Wakiso balaze obw’ennyamivu olw’engeri ab'ekitongole ki KCCA gye bagenda bayiwa kasasiro mu bifo ebirimu abantu ekireeseewo obukenke bw'okukwatibwa endwadde eziva ku bucaafu.Abatuuze mu bitundu nga Nabaziza ne Maggwa-Mpangala oyinza okugamba nti tebakyassa kubanga kasasiro abamuleeta bamuyiwa okuliraana bantu webabeera olwo bbo nebeeyongerayo.
Kati abakulembeze beebuuza lwaki KCCA esazeewo kukola bweti nga ssente ezijiweebwa okukola emirimu zisinga eza nisitulikiti y’e Wakiso.