Endagaano ya UMEME okuggwako: Uganda yaakugisasulira obukadde 200 eza ddoola
Ababaka ba palamenti bakitegedde nti gavumenti eteekateka okusasula kampuni ya Umeme obukadde 200 obwa ddoola nga kino kizze oluvanyuma lw’okusazaamu endagaano yaabwe egenda okukoma nga 31 ommwezi ogw’okusatu.Aba ministry y'obuggaga obw'ensibo baagala embalirira yaabwe ku mulundi guno ebeere ya buwuumbi 3000 basobole okulowooza ku bwebasasula abantu bano.