Ekkolero erisogola waragi ligaddwa
Ab'ebyobulamu mu Tawuni kanso ye Semuto mu Disitulikiti y’e Nakaseke baliko essogolero ly'omwenge lye baggadde ng’entabwe eva ku bujama. Ekkolero eriggaddwa limanyiddwa nga Semuto Distiller nga lino terisangiddwa na bisanyizo birikkiriza kusogla mwenge,songa n'ebikozesebwa bibadde bijama ekisusse. Bbo abadukanya ekkolero lino basuubizza nti bagenda kukola ku nsobi zonna ezizuuliddwa mu kkolero lyabwe.