Anderson Burora asindikiddwa e Luzira
Eyali amyuka RCC e Lubaga Anderson Burora asindikiddwa ku meere e Luzira gyagenda okumala ennaku 6 alyoke akomezebwewo mu kkooti ku misango gy’okukozesa obubi omutimbagano.
Omulamuzi wa kooti esookerwako ku Buganda Road mu Kampala ono amusomedde emisango ebiri.
Okusinziira ku ludda oluwaabi, ono yakozesa omukutu gwa X okusaasanya obubaka bw’obukyayi.