Ssaabasajja Kabaka agguddewo omwaka 2025
Ssaabasajja Kabaka asiimye abantu be okumusabira okuwona obulwadde obubadde bumaze ebbanga nga bumubala embiriizi.
Ono yabadde aggulawo omwaka 2025, mu lubiri e Mengo ku nkuuka eyasombodde abantu okuva ebule n’ebweya.
Okwogera kwa ssaabasajja kwakyamudde bangi oluvannyuma lw’ebbanga nga bamwesunga okulabikirako mu nkuuka.