Kiikino ekikondo webatandikira okubala kilommita mu Kampala
Buli lw'otambulira ku nguudo naddala ezifuluma ekibuga,kuliko obupande obulaga obuwanvu bw'olugendo lwewakatambula.Kyoka batono abakimanyi nti okubala obuwanvu buno kutandikira ku kikondo kimu ekisangibwa mu kampala munda mu kizimbe ekimanyiddwa nga Umber.Ekikondo kino kyasimbwawo bafuzi b'amatwale mu mwaka 1907 kati gye myaka 117 egyakayita.