Kyagulanyi asabye bannakibiina ki NUP okwesimba mu bifo
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi asabye bannakibiina naddala abavubuka okwetaba mu nteekateeka zonna ez’okulonda okusuubirwa okubaawo ku ntandikwa y’omwaka ogujja ogwa 2026.
Kyagulanyi ayagala bano beesimbewo ku bifo byonna eb’obukulembeze kubanga ekiruubirirwa kyabwe kyakukwata buyinza nga batandikira ku kulonda kw’abavubuka okusuubirwa okutandika nga 20 omwezi guno.
Kjjidde mukiseera nga naye yavaayo dda nategeeza nga bwagenda okwesimbawo ku kifo ky'omukulembeze w'eggwanga mu kalonda kuno.