Wofiisi ekola ku nsonga z’amaka e Kayunga ekase omusajja okuzza omukazi eyali yanoba
Wofiisi ekola ku nsonga z’amaka e Kayunga, eragidde abafumbo abaali baayawukana emyaka ena emebega okudding’ana. Ababiri bano okuli Sarah Atayo, ne Julius Kenyi, okwawukana kyava ku mukyala kubaliga, kyokka omukyala olwawulira nti eyali bba yafunye omukyala omulala kwekwagala adde mu maka ge. Mukusooka omusajja yali alumye n’ogw’engulu obutakkiriza mukazi ono kumuzza mu maka ge.