Slyvia Nakayima akyalojja mujja we eyamuyiira Acid eyamuviirako okukyuka mu ndabika
Slyvia Nakayima Nakati akyalojja kalittima eyamuyiira Acid eyamuviirako okukyuka mu ndabika ye n’obulumi bw’atalyebira. Nakayima agamba okuyiirwa Acid, bba yamala kukomawo okuva gye yali akolera ne wabaawo omuntu eyamujjira ku mugongo eyamukolako ettemu lino. Ono ateebereza nti muggya we bwebaali baagala ku musajja omu ye yamutuusa ku kino.