Laba emboozi ya Charles Kalanzi eyayiirwa Acid eyamuviirako okukyuka mu ndabika
Mu mboozi zaffe ezikwata ku butabanguko mu maka, tugenda kulaba emboozi ya Charles Kalanzi eyayiirwa Acid eyamuviirako okukyuka mu ndabika ye. Kalanzi agamba nti eyamuyiira Acid yali amaze ebbanga ng’amukubira amasimu agamutiisatiisa ng’amulabula okumuviira ku mukyala we.