Abatuuze b'e Busujja mu Wakiso basula mu bweraliikirivu olw’obubbi obususse
Abatuuze b'e Busujja e Kakiri mu disitulikiti y’e Wakiso basula mu bweraliikirivu olw’obubbi obususse mu kitundu kyabwe. Bano batulambuzza erimu ku makubo gebanga nti ababbi mwebasinga okuteegera nebatwala ebintu byabwe nga kw’otadde n’okubakuba. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Patrick Onyango bano abagumizza nga bwebagenda okwongera amaanyi mu by’okwerinda mukitundu kino.