Munnamateeka wa Dr. Kizza Besigye Eron Kiiza asindikiddwa mu komera
Munnamateeka wa Dr. Kizza Besigye Eron Kiiza asindikiddwa mu komera amaleyo emyezi Mwenda nga alangibwa kuyisa mu kkooti y’amagye lugaayu. Bino bituusewo bwabadde agenze okuwolereza Dr. Kiiza Besigye ne munne Hajji Obeid Lutale ababadde bakomezeddwawo mu kkooti eno. Bbo baabadde azze okuwolereza badiziddwayo e Luzira okutuusa nga 13/01/2025.