Abatuuze e Namugongo basula ku tebuukye olw’ensolo eteeberezebwa okuba engo okubalumba
Abatuuze ku byalo mukaaga e Namugongo basula ku tebuukye olw’ensolo eteeberezebwa okuba engo ebalumba mu kiro n’etta ebisolo byabwe. Kati bali mukutya nti yanditandika n’okulumba abantu. Ab’ekitongole ky’ebisolo by’omunsiko ki Uganda Wild Life Authority batandise omuyiggo gw’ekisolo kino.