Abantu abatannaba kutegeerekeka balumbye ekkanisa y’abalokole nebajiteekera omuliro
Abantu abatannaba kutegeerekeka balumbye ekkanisa y’abalokole mu kiro ekyakeesezza olwaleero nebajiteekera omuliro wamu n’okubba ebintu byebasanzeemu. Kino kyekuusibwa ku nkaayana ku ttaka okuli ekkanisa eno eya Leaders and Disciples Ministries e Kasanje mu Wakiso.