Abakulembeze e Tooro bakalaatidde abazadde okusomesa abaana
Abakulembeze be nono mu Bukama bwa Tooro bakalaatidde abazadde okusomesa abaana obuwangwa bwabwe n’enono mu luwumula luno okwewala okukoppa eby’obuwangwa by’abalala. Bino babyogeredde mu lukungaana lw’ab’ekika ky’e Lukato mu Rutooro kyebayita Ntimba.