Ab’ekiwayi kye Katonga bakukkulumidde ab’ebyokulonda okulwawo
Obukulembeze bwa FDC etuula e Katonga balaze okutya nga bugamba nti eky'akakiiko k'eby'okulonda okulwawo okuwandiisa ekibiina kyabwe ekijja ki People’s Front for Freedom kyanditaataganya enteekateeka zaabwe ez'okusattulula ekibiina ki FDC kwossa okweteekerateekera akalulu ka 2026 mu budde. Kati bano baagala akakiiko k'ebyokulonda kakole ku nsonga zaabwe ng'omwezi guno tegunnagwako, wabula bano akakiiko k'ebyokulonda kabaanukudde.