Ebya Karua okufuna satifikeeti bijulidde nkya
Akakiiko k'ebyamateeka kayite Uganda Law Council kakkirizza okuwa Munnamateeka Martha Karua olukusa okuwolereza Dr. Kizza Besigye ne Munne Obeid Lutale abaakwatibwa mu ggwanga lya Kenya omwaka oguwedde ku misango egyekuusa ku kusangibwa n'e Pasitoola mpozi n'okuseeketeerera gavumenti.
Kyokka Karua tasobodde kufuna satifikeeti emukkiriza okukolera olwemisoso egyenjawulo gyabadde alina okutuukiriza omuli n'okusasula ensimbi nga bino byonna bijulidde lunaku lwa nkya kumakya.
Munnamateeka munne Erias Lukwago atubuulidde nti babakakasizza nga bwe bajja okusobola okufuna satifikeeti eno enkya ku makya.