Ebibiina by’abavubuka birwanidde tulakita eyaweebwa ab’e Hoima
Mu disitulikiti ye Hoima Waliwo abavubuka abalwanidde mu lukiiko nga entabwe evudde ku kukulemwa ku kaanya ku bwananyiini bwa tulakita ebbiri ezabaweebwa gavumenti bekulakulanye.
Tulakita zino emu yaweebwa bakyala,ate endala neweebwa abavubuka basobole okwekulakulanya.
Tukitegedde nti okulwanagana kudiridde okulemwa okukaanya ku ani omutuufu alina okudulanya tulakita, okukakana nga balwanaganye.