Kyagulanyi ayanukudde ku bwafulumidde ku mukutu gwa Muhoozi
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ayanukudde obubaka obwafulumidde ku mukutu gw’omutimbagano gwa ‘x’ oba twitter oguli mu mannya g'omuduumizi w'eggye ly'eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba, nga butiisa okumutuusaako obulabe. Kyagulanyi agamba nti yadde ng'obubaka nga buno siwakubutwala nga bwakusaaga wabula tajja kutiisibwatiisibwa.Yê Minisita omubeezi ow'ebyamawulire Godfrey Kabbyanga naye ategezeza ng'obubaka obufulumira ku mukutu gwa Gen. Muhoozi bwe butasaanye kweraliikiriza munnayuganda yenna kubanga buno bubaka obutaliiko mukono oba eky’enkinkumu okukasa obwannanyini.