Poliisi egamba tejja kukkiriza abayimbi abatambula na bibinja
Poliisi efulumizza ebiragiro ebiggya ku bayimbi bonna mu ggwanga nga mu bino teri muyimbi oba munnakatemba agenda kuddamu kukkirizibwa kutambula na bantu abasukka mu bataano ng’agenda ku kivvulu kyonna. Kijjidde mu kaseera nga kyewajje wabalukewo omuzze gw’abayimbi okutambula n’obubinja bwabavubuka abakola effujjo gyebaba balaze, kko nokulumya abantu. Mungeri y’emu n’ekibiina ekitaba abayimbi ne bannakatemba ki Uganda National Cultural Forum kiweze abayimbi Patrick Mulwana ne Pious Mayanja obutaddamu buteetaba mu kivvulu kyonna okumala emyezi mukaaga.