Kyabazinga asisinkanye abakozi ba gavumenti abava e Busoga
Kyabazinga wa Busoga Wilberforce Nadiope asabye abakozi ba gavumenti n'abakulembera ebitongole ebyenjawulo abavu mu kitundu kino okulaba nga bayamba okukikulaakulanya. Bano olunaku lweggulo baabadde ku lubiri lwa Kyabazinga Olw'e Igenga.Nankulu wa KCCA omupya Sharifa Buzeki y'omu ku baabadde mu nsisinkano eno.