Owa NUP eyalumiriza Kyagulanyi amaze n’alya ebigambo bye
Ojjukira omusajja eyalaajanira Pulezidenti Museveni okumusonyiwa ye ne banne aba NUP bwe baali baleeteddwa mu kkooti y’amagye e Makindye? Alyoke ategeeze nti ssenkulu wa NUP Robert Kyagulanyi ye yabawabya okutuuka okutabangula emirembe?Omusajja ono ye Muhaidiini Kakooza era ye ne banne baateebwa ku kisonyiwo ky’omukulembeze w’eggwanga oluvannyuma lw’okukkiriza emisango egyali gibavunaanibwa.Kakooza leero akubye enkyukira bwategeezezza nga bweyakozesebwa abamu ku bakulu mu gavumenti atuuke n’okutegeeza nti Kyagulanyi ye yabatuma okutabangula emirembe.