Eddwaliro lye Fort Portal likyatubidde n’omulambo gumu ku bafiridde mu kabenje k’e Kyenjojo
Abakulira e ddwaliro ekkulu e Fort Portal bakyatubidde n'omulambo gw'omusajja atalina bimwogerako ono nga y'omu ku bantu ekkumi n’abana abafilidde mu kabenje akaagudde e Kyenjojo ku lwokuna lwa wiiki eno. Abamu ku baddusiddwa mu ddwaliro lino nga bali mu mbeera mbi negyebuli eno bakyafuna bujjanjabi okulaba nga batereera.