Wuuno aliko obulemu alindirira okutikkirwa e Makerere
Bridget Kobusingye, nga wa myaka 24 , y’omu ku bayizi abaliko obulemu abalindirira okutikkirwa ku ssettendekero wa Makerere omwezi guno , ku matikkiria gaayo og'omulundi gwa 75. Ono agamba nti abaana abaliko obulemu bayita mukusoomoozebwa kungi era aliko by'asonzeeko abakulira Makerere University byebalina okukola okubagondeza obulamu.