Nabakooba n’abakulembeze abalala balungamizza abatuuze ku ensonga z’ettaka e Mityana
Minisita avunanyizibwa kunsonga zettaka mu ggwanga, Judith Nabakooba asabye abakulembeze byo kubyalo okuvaayo okulambika abantu ku byokwewola ssente nga basingayo ettaka.Okwogera bino abadde mu musomo ogwebyettaka ogwategekeddwa e Mityana nga guno gwagendereddwaamu okutereeza emigozobano egibeera kuttaka kwossa nokumalawo okwemulugunya kwabantu babulijjo ku nkola ya gavumenti eyokwekulaakulanya eya PDM .