Komawo awaka oba eyo bakugaanye: E Masaka banna DP bawadde Mpuuga amagezi
Bannakibiina ki Democratic Party okuva mu bendobendo ly’e Masaka basisinkanye okulaba butya bwebebbulula ekibiina kyabwe wakati mu bigenda mu maaso mu kitundu kyabwe.
Ensisinkano eno ebadde mu kibuga Masaka era yeetabiddwamu abakulembeze okuva ku mitendera egy'enjawulo okuli n'ababaka b’ekibiina ki DP.
Era eno gyebategeereza nga bwebali abeetegefu okwaniriza omubaka Mathias Mpuuga singa yeekuba mu mutima n’adda awaka.