Kabaka alabiseeko eri Obuganda, Ayogedde ku mbeera y’obulamu bwe
Oluvanyuma lw’abantu ab’enjawulo okuvaayo nebabanja okulaba ku mutanda, ndowooza olwaleero emitima gy’akubakakkana. Nnyini ayogeddeko eri Obuganda nga asinziira mu ggwanga lya Namibia gyali mu kuwummulamu okusinziira ku kuwabula kw’abasawo. Ono asabye abantu ba Buganda okuba obumu, n’ategeeza nga embeera ye bwegenda etereera nga esaawa yonna waakudda ku Butaka.