Abayizi b’amasomero ag’enjawulo e Mityana bakubiriziddwa okwewala obubbi
Abayizi b’amasomero ag’enjawulo e Mityana Bakubiriziddwa okwewala ebikolwa naddala obubbi olwo nno lwebanaasobola okuba ab’omugaso mu ggwanga. Okusaba kuno kukoleddwa Fr. John Paul Luttamaguzi bwabadde ayogera eri abayizi abalamaze ku kelezia ya Kiyinda Mityana ku lunaku lw’abaana.