Abazikibwa kasasiro: Waliwo abakyakalambidde kunoonya abaabwe
Abatuuze b’e kiteezi abatanafuna mirambo gyabwe bakukulumidde gav’t obutabafaako okulaba nga nabo bafuna abantu baabwe.
Bagamba okuva enjega eno lweyagwawo n’okutuusa kati tebannafuna bantu baabwe kyoka bweboogerako, babalaba kyamuli.
Ye Min. omubeezi owabigwa tebiraze agamba abantu abali mu nkambi bagenda kwogera nabo bababuuze byebagala ku ttaka n’essente.