Akatale ka Bongole Women Friendly Market: Abasuubuzi baakesamba, mulimu basatu bokka
Abasuubuzi mu katale ka Bongole Women-friendly Market akaazimbibwa ekitongole ki Korea International Corporation Agency (KOICA) mu disitulikiti y'e Mpigi beekokkola abaakakwasibwa okukaddukanya nti tebakoze kimala okusikiriza abasuubuzi okukettanira.
Kano kamaze kati emyezi musanvu bukya kaggulwawo wabula wetutuukiddeyo nga mulimu abasuubuzi basatu bokka.