Bbanka ya Uganda ekubirizza abantu okwetanira okutereka ssente
Bbanka ya Uganda ekubirizza abantu okwetanira okutereka ssente, mubifo ebirambikiddwa mu mateeka okwewala okubulankanya ssente zaabwe. Abakulu mu bbanka eno bagamba buli muntu yanditerese okusinziira ku sente z’oyingiza. Bbo abantu ab’enjawulo balaze nga bwebateesiga banka ne zi Sacco okutereka ssente zaabwe olw’okuzibulankanya nga bbo beesiga banaabwe okubaterekera.