Bishop Anthony akubiriza abazadde okukuza abaana mu mpisa
Kizuuliddwa nga abazadde bangi beesuliddeyo gwa nnagamba mu kukuza abaana essira nebaliteeka mu kunoonya ensimbi. Kino kiviiriddeko abaana okukula omuwawa.
Akulira essaza erya Kiyinda Mityana Bishop Anthony Zziwa awadde abayizi okukula n’empisa olwo lwebanaasobola okuba abawanguzi mu nsi eno.
Okwogera bino bano babadde ku somero lya St. Gonzaga P/S amasomero ku musingi gw’abakatuliki aga puleyimale gyegavuganyiriza mu nyimba.