E Mityana abatuuze banyiivu: Bagamba balinze abababala tebabalabako
Abatuuze ku kyalo Mpanga ekisangibwa mu muluka gwe Naama mu gombolola eya Busimbi mu munisipaali y’e Mityana banyikaavu oluvannyuma olw’okulinda abantu abalina okubabala nga tebalabikako n’okutuusa olwaleero.
Bagamba nti ekibaluma kwekuba nga emirimu gyabwe gifudde, oluvannyuma lw’okubeera awaka nga balinda okubalibwa. Abakola ku byokubala abantu mu kitundu kino babagumizza.