E Mityana omwana eyabula asangiddwa yatiddwa
Abantu basatu bebakwatiddwa poliisi e Mityana kubyekuusa kukutemula omwana Samali Namuyomba ow’emyaka ebiri n’omulambo gwe negusuulibwa mu nimiro ya kasooli.
Omwana ono abadde yabula ku Lwakubiri lwa sabiiti eno nga ekiro ekyakeeseza olwaleero lwebaazudde omulambo gwe nga gusaliddwako ebitundu byekyama nga n’ebyenda biri bweru.