Eby’entambula byasannyalala e Masindi oluvannyuma lw’olutindo lwa Siba okugwamu
Eby’entambula byasannyalala mu disitulikiti y’e Masindi okuva mu ggombolola y’e Budongo okudda e Nyantozi, oluvannyuma lw’olutindo lwa Siba okugwamu.
Okusinziira ku batuuze, eby’enfuna, eby’enjigiriza n’eby’obulamu byafuuse bizibu anti tebakyasobola kuva mu ggombolola emu kudda mu ndala.
Bagamba bagezezaako okwekubira enduulu eri bekikwatako naye nga bafuyira ndiga omulere.