Enkozesa ya kabuyonjo embi: eviirako okuzibikira kw'emidumu gya kazambi
Abakulembeze mu Kampala bakaayukidde ab'ekitongole ky’aMazzi ki National water and Sewage Cooperation olw’okulemererwa okukola emirimu gyakyo kazamba n’alyoka asaasanira ekibuga ekiviirideko abantu okulumbibwa endwadde eziva ku bukyafu. Bagamba emidumu gya kazambi gyabika buli kiseera kyokka nebatafaayo kusitukiramu kugyidaabiriza. Mukwewozaako bano bategezezza nga abantu abakozesa kaabuyinjo obubi bebaviirideko emikutu gyakazambi okuzibikira.