Gav't erabudde abawolera ku ndagamuntu
Gavumenti etegeezezza nga bwegeNda okukwata abantu bonna n’ebitongole eby’enyigira mu kuwola abantu ssente nga babaggyako endagamuntu zaabwe nga omusingo. Okusinziira ku Minister wa w’eby’amawulire n’okuteekerateekera eggwanga Chris Baryomunsi, omuntu yenna akuuma endagamuntu etali yiye, aba amenya mateeka era asobola okusibwa emyaka egitakka wansi w’esatu.