Katikkiro akubirizza abavubuka obutawubisibwa bannakigwanyizi
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka okulafuubana okulaba nga balwaniririra omugabo Buganda gweyateeka ku Uganda eyamu. Era abajjukiza okunywerera ku nsonga y’okuzza Buganda ku ntikko, era babeere n’eriiso ejjoji okwewala okuwubisibwa abantu ababajja ku mulamwa.