Mathias Mpuuga asisinkanye akakiiko k’eby’okulonda ku by’enongoosereza mu tteeka ly’eby’okulonda
Omukulembeze w’ekisinde ki Democratic Alliance Mathias Mpuuga, asisinkanye akakiiko k’eby’okulonda ku nteekateeka z’okulaba nga wabaawo enongoosereza mu tteeka ly’eby’okulonda n’ekigendererwa ky’okutegeka okulonda okujja okuba okw’emirembe n’obwenkanya. Bano baagala ebifo ebimu bigyibwewo, okutereeza enkalala z’abalonzi, okunyweza eby’okwerinda by’abesimbyewo okuvuganya kko n’ensonga endala. Akakiiko k’eby’okulonda mukwanukula kategeezeza nga bwekayaniriza buli kirowoozo kyabuli gwekikwatako okusobola okubeezawo akalulu k'amazima n’obwenkanya. Wabula nga kategeezeza nti eky’okukola enongosereza mu mateeka tekiri mu mikono gyabwe.