Mukisa Foundation ewa abamu ku bazadde babaana abaliko obulemu emirimu
Ekitongole ki nakyewa ki Mukisa Foundation e Lunguja kirabirira abaana abaliko obulemu - kyasalawo okuwa ba maama b’abaana bano emirimu mu kifo kino. Okusinziira ku kitongole kino, kyalaba nga bano tebetaaga kutendekebwa kunene nnyo okwagala abaana bano kubanga baana baabwe at nga kibayamba n’okufuna akasente akalabirira amaka gaabwe.