Mulago Specialised Women and Neonatal hospital erimu nteekateeka ya kuzimba tterekero
Abatwala eddwaliro lya Mulago Specialised Women and Nuonatal hospital liri mu nteekateeka ya kuzimba tterekero ly’amata g’amabeere okusobola okudduukirira abaana abafuna okusomoozebwa kw’okuyonka nga bazaaliddwa. Bano bagamba amata gano gaakugabibwa eri abaana naddala abazaalwa nga tebannetuuka nga kati basaba abantu bakwatagane nabo mu kaweefube ono. Bino bituukiddwako nga bajaguzza obulamu bw’abaana abazaalibwa nga tebannatuuka.