Okusosola mu kukwasisa amateeka ku Nyanja Muttanzige e Ntoroko
Okusosola mu kukwasisa amateeka ku Nyanja Muttanzige e Ntoroko, abavubi beekubidde enduulu ew’omuduumizi w’amagye agalwanyisa envuba embi olw’abasilikale ababatulugunya ate nebaleka ba nnansi ba Congo okuvuba mu bitundu bya Uganda nga bakozesa ebintu ebitakilizibwa.
Col. Mercy Tukahiirwa alagidde abaserikale be obutakkiriza ba Congo kuddamu kuvubira mu Uganda
Ono abadde mu nsisinkano n’abavubi bo kumwalo e Kanaara.