Omuntu omu atannategeerekeka akubiddwa essasi erimutiddewo
Omuntu omu atannategeerekeka akubiddwa essasi erimutiddewo, poliisi bwebadde enunula munnansi wa Misiri, eyali yawambibwa abantu abakyanoonyerezebwako, nebatandika okukanda abantu be ssente. Poliisi egamba nti bano okubagwa mu buufu, kiddiridde akaseera nga abakuuma ddembe banoonya munnansi wa Misiri ono era nga mukugezaako okweng’anga abantu bano poliisi wefulumirizza essasi erikutte omu kubbo n’afa nga atuusibwa mu ddwaliro.