Omupakasi asse abaana babiri
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mijjunju mu gombolola y’e Kabira e Masaka, omupakasi bwatemyetemye abaana babiri n’abattirawo - abatuuze ababadde bataasa nabo abatemye era bagenze bapookya. Abatuuze abalala mu kukungaana bamukakkanyeko naye nebamutta.